Psalms 117

1 aMutendereze Mukama, mmwe ensi zonna;
mumugulumize, mmwe amawanga gonna.
2 bKubanga okwagala kwe okutaggwaawo kungi gye tuli;
n’obwesigwa bwa Mukama bwa lubeerera.

Mutendereze Mukama.
Copyright information for LugEEEE